Zabbuli 5 - Luganda Bible 2003Okusaba Katonda atukuume 1 Wulira bye ŋŋamba, ayi Mukama, tegereza omulanga gwange. 2 Wulira okwegayirira kwange, ggwe Kabaka wange era Katonda wange. 3 Ku makya owulira eddoboozi lyange. Enjuba ng'evaayo nkusaba, ne nnindirira ky'ononziramu. 4 Ggwe Katonda atasanyukira bikolwa bibi, akola ekibi tabeera naawe. 5 Abeenyumiriza tobakkiriza mu maaso go, okyawa bonna abakola ebibi. 6 Ozikiriza aboogera eby'obulimba; abatta abantu era n'ab'enkwe, Mukama obakyayira ddala. 7 Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, nnaayingiranga mu nnyumba yo. Nnaasinzizanga mu Ssinzizo lyo ettukuvu, ne nkussaamu ekitiibwa. 8 Ayi Mukama, nnuŋŋamya nkolenga ky'oyagala, kubanga nnina abampalana bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo lye mba nkwata. 9 Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, ekibali ku mutima kwe kukola ebibi. Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, boogera bya kuwaanawaana. 10 Ayi Katonda, basalire omusango okubasinga. Bo bennyini be baba bagwa mu mitego gyabwe. Bagobe mu maaso go olw'ebibi byabwe ebingi, kubanga bakujeemedde ggwe. 11 Naye bonna abakwesiga basanyuke, bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abakwagala basanyukirenga mu ggwe, 12 kubanga, ayi Mukama, owa omukisa abakola by'oyagala. Ekisa kyo kibakuuma ng'engabo. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda