Online Bible

- Advertisements -


Zabbuli 4 - Luganda Bible 2003


Okwesiga Mukama

1 Ayi Katonda, ggwe onnyamba, bwe nkukoowoola onziramu. Kati nkwatirwa ekisa, owulire kye nsaba.

2 Mmwe abantu mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okukolera ku by'obulimba?

3 Mumanye nti Mukama abamwagala abalonze okuba ababe. Mukama bwe mmukoowoola, ampulira.

4 Mmwe mutye, mulekere awo okwonoona. Musiriikirire mulowooze nga mwebase mu bitanda byammwe.

5 Muweeyo ebitambiro ebisaanira, era mwesige Mukama.

6 Bangi abagamba nti: “Ani alitulaga ebirungi? Tutunuulize ekisa, ayi Mukama.”

7 Ompadde essanyu eritafunibwa balala mu kyengera ky'emmere n'omwenge.

8 Ngalamira ne neebaka mirembe, kubanga, ayi Mukama, ggwe onkuuma ne sitya.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements