Zabbuli 3 - Luganda Bible 2003Okwesiga Mukama mu buzibu 1 Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Bangi abasituka okunnumba. 2 Bangi abanjogerako nti: “Katonda taamuyambe.” 3 Naye ayi Mukama, ggwe ngabo enkuuma. Ggwe nneenyumiririzaamu, ggwe ompanirira. 4 Nkoowoola Mukama, n'anziramu ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. 5 Ngalamira ne neebaka, ne nzuukuka, kubanga Mukama ankuuma. 6 Sitya nkumi na nkumi z'abalabe abanneetooloola okunnumba. 7 Ayi Mukama, jjangu ondokole, ayi Katonda wange! Ggwe okuba abalabe bange empi ku ttama, n'omenya amannyo g'aboonoonyi. 8 Mukama, era ggwe olokola, n'owa abantu bo omukisa. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda