Online Bible

- Advertisements -


Zabbuli 2 - Luganda Bible 2003


Omusiige wa Mukama

1 Lwaki amawanga geegugunga, n'abantu ne balowooza ebitaliimu?

2 Bakabaka b'ensi baateekateeka, n'abafuzi bateeseza wamu okulwanyisa Mukama n'omusiige we

3 nga bagamba nti: “Ka tukutule enjegere zaabwe, tweggyeko ekikoligo kyabwe.”

4 Mukama ng'ali waggulu abasunga era abasekerera.

5 Olwo n'abagamba ng'asunguwadde, n'abatiisa ng'aswakidde nti:

6 “Ku lusozi lwange olutukuvu Siyooni, nateekako kabaka.”

7 “Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama. Mukama yagamba nti: ‘Oli mwana wange, olwaleero nkuzadde.

8 Nsaba, nze ndikuwa amawanga gonna n'ensi yonna, bibe bibyo.

9 Olibimenya n'omuggo ogw'ekikomo, olibyasaayasa ng'entamu y'omubumbi.’ ”

10 Kale kaakano bakabaka mugeziwale, abafuzi b'ensi muyige.

11 Muweereze Mukama nga mutya. Mumusseemu ekitiibwa nga mukankana,

12 sikulwa ng'asunguwala ne muzikirira. Obusungu bwe tebulwa kusituka. Ba mukisa abo bonna abamweyuna.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements