Okuva 2 - Luganda Bible 2003Okuzaalibwa kwa Musa 1 Awo omusajja ow'omu Kika kya Leevi, n'agenda n'awasa omukazi ow'omu lulyo lwa Leevi. 2 Omukazi n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Bwe yalaba ng'omwana mulungi, n'amukwekera emyezi esatu. 3 Yalaba takyayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo, n'akisiiga ettosi n'envumbo, n'ateekamu omwana, n'akiteeka mu kitoogo, ku lubalama lw'omugga. 4 Mwannyina w'omwana n'ayimirira walako, alabe ekinaamutuukako. 5 Awo muwala wa kabaka n'aserengeta ku mugga okunaaba. Abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga. N'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. 6 Muwala wa kabaka n'akisaanukula, n'alaba omwana. Omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'agamba nti: “Ono y'omu ku baana Abeebureeyi!” 7 Mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa kabaka nti: “Ŋŋende nkuyitire omukazi Omwebureeyi akuyonseze omwana oyo?” 8 Muwala wa kabaka n'amugamba nti: “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'ayita nnyina w'omwana. 9 Muwala wa kabaka n'agamba omukazi nti: “Twala omwana ono omunnyonseze, ndikuwa empeera.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. 10 Omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa kabaka. Muwala wa kabaka n'amufuula mutabani we, n'amutuuma erinnya Musa, ng'agamba nti: “Kubanga namuggya mu mazzi.” Musa addukira e Midiyaani 11 Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda okukyalira baganda be Abeebureeyi, n'alaba nga bwe batuntuzibwa. N'alaba n'Omumisiri ng'akuba Omwebureeyi, omu ku b'eggwanga lya Musa. 12 Musa n'amagamaga eruuyi n'eruuyi, n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. 13 Ku lunaku olwaddirira, n'addayo n'alaba abasajja Abeebureeyi babiri nga balwanagana, n'agamba oyo omusobya nti: “Kiki ekikukubizza munno?” 14 Omusajja n'addamu nti: “Ani yakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya, n'agamba mu mutima gwe nti: “Abantu baategedde kye nakoze!” 15 Kabaka bwe yawulira ebibaddewo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka kabaka, n'agenda n'abeera mu nsi ya Midiyaani. Lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi, 16 abawala musanvu aba kabona w'e Midiyaani, ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe. 17 Abasumba ne bajja ne babagoba. Naye Musa n'asituka n'abayamba, n'anywesa eggana lyabwe. 18 Bwe baddayo eri Reweli kitaabwe, n'agamba nti: “Nga mukomyewo mangu olwa leero!” 19 Ne baddamu nti: “Omumisiri ye atudduukiridde n'atuwonya abasumba, era n'atusenera amazzi, n'anywesa eggana.” 20 N'agamba bawala be nti: “Ali ludda wa? Lwaki mumuleseeyo? Mugende mumuyite, alye emmere.” 21 Musa n'akkiriza okubeera n'omuntu oyo, Reweli n'awa Musa muwala we Zippora. 22 Zippora n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusoomu, kubanga yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.” 23 Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'e Misiri n'afa. Naye Abayisirayeli ne basigala nga bakyasinda olw'obuddu bwabwe. Ne bakaaba, era okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24 Katonda n'awulira okusinda kwabwe, n'ajjukira endagaano ye gye yakola ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. 25 Katonda n'alaba okubonaabona kw'Abayisirayeli, n'abalumirwa. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda