Online Bible

- Advertisements -


Koseya 2 - Luganda Bible 2003

1 Kale mugambe baganda bammwe nti: “Bantu bange”, ne bannyinammwe nti: “Mbakwatirwa ekisa.”


Omukazi atali mwesigwa

2 Mwegayirire nnyammwe, wadde nga takyali mukazi wange, era nga nange sikyali bba, mumwegayirire alekeyo obwenzi bwe n'obukaba bwe,

3 nneme okumwambula, okumuleka obwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta.

4 Abaana be siribakwatirwa kisa, kubanga nnyaabwe mwenzi.

5 Nnyaabwe oyo omwenzi eyawemuka, yagamba nti: “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n'amazzi, engoye ez'ebyoya by'endiga n'ez'enjaaye, omuzigo n'ebyokunywa.”

6 Kale ekkubo lye, ndiriteekamu amaggwa ne ndiziba, era ndikola olukomera abulwe w'ayita.

7 Aligoberera baganzi be, naye talibatuukako. Alibanoonya, naye talibazuula. Olwo aligamba nti: “Nja kuddayo ewa baze eyasooka, kubanga luli nali bulungi okusinga bwe ndi kaakano.”

8 Teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'omuzigo, era nga nze namuwanga ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali.

9 Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange n'omwenge mu kiseera eky'amakungula, era ne mmuggyako n'engoye ez'ebyoya by'endiga, n'ez'enjaaye ze namuwa okwambala.

10 Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, era tewaliba amuggya mu buyinza bwange kumuwonya.

11 Ndikomya ennaku ze enkulu n'embaga ze eza buli mwezi n'eza buli mwaka, n'okukuza Sabbaato n'enkuŋŋaana ze zonna ez'eddiini.

12 Ndizikiriza emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti: “Gino ye mpeera yange, baganzi bange gye bampadde.” Ndigizisa, era ensolo ez'omu ttale zirigirya.

13 Ndimubonereza olw'ekiseera kye yamala ng'anneerabidde, ng'ayotereza Baali obubaane era nga yeewoomya n'empeta ez'omu matu n'ebyobuyonjo, n'agenda ne baganzi be. Mukama ye ayogedde.


Mukama ayagala abantu be

14 Kale ndimusendasenda ne mmutwala mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa.

15 Era nga tuli eyo, ndimuddiza ennimiro ze ez'emizabbibu. Ekiwonvu eky'Emitawaana ndikifuula oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu okumpulira nga bwe yakolanga mu nnaku ez'omu buvubuka bwe, mu kiseera kye yaviiramu e Misiri.

16 Mu biro ebyo alimpita bba, nga takyampita mukama we,

17 kubanga ndiba sikyamukkiriza kwogera wadde okwatula erinnya Baali.

18 Mu nnaku ezo ndikola endagaano n'ensolo ez'omu ttale n'ebinyonyi era n'ebyewalula, biremenga kukola kabi ku bantu bange. Era ndiggyawo omutego gw'obusaale n'ekitala n'ebyokulwanyisa ebirala byonna mu nsi, ne mbaleka mubeere mirembe.

19 Ndikuwasa ggwe Yisirayeli, n'oba mukazi wange ennaku zonna. Ndikulokola ne mba mwenkanya gy'oli. Ndikulaga ekisa ne nkusaasira.

20 Ndiba mwesigwa gy'oli era olimmanya nga nze Mukama.

21 Mu biro ebyo nditonnyesa enkuba ku nsi,

22 era n'ensi eribaza eŋŋaano n'emizabbibu n'emizayiti. Ndyanukula okusaba kwa Yezireeli.

23 Nditeeka Abayisirayeli mu nsi eno, era ndisaasira abo abaali batasaasirwa, era abo abaayitibwanga “Abatali bange” ndibagamba nti: “Muli bantu bange”. Nabo baligamba nti: “Oli Katonda waffe.”

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements