Kaggayi 2 - Luganda Bible 2003Ekitiibwa ky'Essinzizo eriggya 1 Ku lunaku olw'amakumi abiri mu olumu, olw'omwezi ogw'omusanvu, mu mwaka ogwo, Mukama era n'ayogerera mu Haggayi omulanzi. 2 N'agamba Haggayi nti: “Tegeeza Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli era omufuzi wa Buyudaaya, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, n'abantu bonna abaakomawo, obagambe nti: 3 ‘Ani mu mmwe abasigaddewo, eyalaba ku Ssinzizo lino mu kitiibwa kyalyo ekyasooka? Era mukiraba mutya kaakano? Temulaba nga si lyakitiibwa? 4 Naye ggwe Zerubabbeeli, naawe Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, era nammwe mwenna abantu abali mu nsi eno, temuggwaamu maanyi. Mukole omulimu, kubanga ndi wamu nammwe, nze Mukama Nnannyinimagye. 5 Bwe mwali muva e Misiri, nabasuubiza okubeeranga awamu nammwe bulijjo. N'olwekyo muleme kutya. 6 “ ‘Esigadde ekiseera kitono, nkankanye eggulu n'ensi, n'ennyanja n'olukalu. 7 Nja kukankanya amawanga gonna, ebyobugagga byago bireetebwe wano, Essinzizo ndijjuze ebyobugagga. 8 Ffeeza yenna ne zaabu yenna wange. 9 Essinzizo eriggya liriba lya kitiibwa okusinga liri eryasooka, era mu lyo mwe ndiweera abantu bange ebirungi n'emirembe.’ ” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde. Omulanzi abuuza bakabona ebibuuzo 10 Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'omwenda, mu mwaka ogwokubiri, nga Dariyo ye kabaka, Mukama era n'ayogera ne Haggayi omulanzi. 11 Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Buuza bakabona basalewo ku nsonga eno. 12 Omuntu bw'asala ekifi ky'ennyama ku kitambiro ekitukuvu, ekifi ekyo n'akitwalira mu lugoye lw'ayambadde, ekirenge ky'olugoye olwo ne kikoona ku mugaati, oba ku mugoyo, oba ku muzigo, oba ku kyokulya ekirala kyonna, ekyokulya ekyo kifuuka kitukuvu?” Bakabona ne baddamu nti: “Nedda.” 13 Awo Haggayi n'abuuza nti: “Omuntu bw'afuuka atali mulongoofu olw'okukwata oba okukoona ku mulambo, n'akwata ku kimu ku byokulya ebyo, kifuuka ekitali kirongoofu?” Bakabona ne baddamu nti: “Ddala, kifuuka ekitali kirongoofu.” 14 Awo Haggayi n'agamba nti: “Mukama agamba nti: Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu b'eggwanga lino, ne ku byonna bye bakola. Buli kye baleeta wano mu maaso gange, si kirongoofu.” Mukama asuubiza abantu omukisa gwe 15 Mukama agamba nti: “Temuyinza kulaba bibatuuseeko mmwe? Bwe mwali temunnatandika kuzimba buggya Ssinzizo lyange, 16 omuntu bwe yajjanga ku ntuumu y'eŋŋaano, ng'asuubira okusangako kilo ebikumi bibiri, waabangawo kikumi kyokka. Bwe yajjanga ku ssogolero okusena lita ekikumi ez'omwenge ogw'emizabbibu, yasenangamu amakumi ana gokka. 17 Nababonereza nga nsindika okugengewala n'obukuku n'omuzira mu birime byammwe byonna, naye era temwakyuka kudda gye ndi. 18 Olwaleero lwe lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'omwenda, olumaliriziddwako okuzimba omusingi gw'Essinzizo lyange. Mwekkaanye ekigenda okubaawo okuva leero. 19 Newaakubadde nga mu ggwanika temukyali ŋŋaano ya kusiga, wadde ng'emizabbibu n'emitiini, n'emikomamawanga, n'emizayiti teginnabala, naye okuva ku lunaku lwaleero, nja kubawa omukisa.” Mukama bye yasuubiza Zerubabbeeli 20 Ku lunaku olwo, olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi, Mukama n'awa Haggayi obubaka omulundi ogwokubiri, 21 agambe Zerubabbeeli, omufuzi wa Buyudaaya nti: “Nja kukankanya eggulu n'ensi, 22 nzigyewo obwakabaka bw'amawanga, mmalewo n'obuyinza bwago. Nja kusuula amagaali n'abo abagatambuliramu. Embalaasi zijja kufa, n'abazeebagala bajja kuttiŋŋana. 23 Ku lunaku olwo, ndikutwala ggwe Zerubabbeeli omuweereza wange, era mutabani wa Seyalutiyeli, ne nkuteekawo ofuge mu linnya lyange, kubanga ggwe nnonze.” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda