Et 7 - Luganda Bible 2003Eggwanga lya Mukama lye yalondamu (Laba ne Kuv 34:11-16 ) 1 “Mukama Katonda wammwe alibayingiza mu nsi gye mugenda okwefuga. Bwe muliba mutuuka, aligobamu amawanga mangi ag'Abahiiti, n'Abagirugaasi, n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi, amawanga musanvu amanene era ag'amaanyi okubasinga mmwe. 2 Mukama Katonda wammwe bw'aliteeka abantu abo mu mikono gyammwe ne mubawangula, mubasaanyizangawo ddala. Temukolanga nabo ndagaano n'emu, era temubakwatirwanga kisa. 3 Temuufumbiriganwenga nabo. Bawala bammwe temuubawenga batabani baabwe kubawasa, era ne bawala baabwe temuubawasizenga batabani bammwe, 4 kubanga bwe mulikikola, ab'amawanga ago balikyusa abaana bammwe ne babaggya ku Mukama, ne basinza balubaale, Mukama n'abasunguwalira mmwe, era n'abazikiriza amangwago. 5 Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro, 6 kubanga muli ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Yabalondamu okuba eggwanga lye eryenjawulo mu mawanga gonna agali ku nsi. 7 “Mukama yabaagala mmwe, era yabalondamu, si lwa kuba nga mwali bangi okusinga ab'amawanga amalala, kubanga mmwe mwali eggwanga erisingayo obutono mu mawanga gonna. 8 Naye Mukama yabaagala bwagazi, era yayagala okukuuma ekirayiro kye yalayirira bajjajjammwe, kyeyava akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi okubanunula, n'abaggya mu mikono gya Kabaka w'e Misiri, eyabafuganga obuddu. 9 N'olwekyo mumanye nga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda yekka era nga mwesigwa. Akuuma endagaano ye, era akwatirwa ekisa amazadde olukumi ag'abo abamwagala era abakuuma ebiragiro bye. 10 Naye abamukyawa alibeesasuza ng'abazikiriza. Talironzalonza kubonereza buli muntu amukyawa. 11 Kale mutuukirizenga amateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro bye mbawa olwaleero. Emikisa egiri mu buwulize (Laba ne Ma 28:1-14 ) 12 “Bwe munassangayo omwoyo ku biragiro bino ne mubikwata era ne mubituukiriza, Mukama Katonda wammwe anaakuumanga endagaano gye yakola nammwe, era anaabakwatirwanga ekisa nga bwe yalayirira bajjajjammwe. 13 Anaabaagalanga mmwe, n'abawa omukisa, ne mweyongera okwala. Anaawanga abaana bammwe omukisa. Anaagimusanga ettaka lyammwe, ne mufuna omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti. Anaayazanga ente zammwe n'amagana gammwe ag'embuzi n'endiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe. 14 Muliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna. Mu mmwe temuubenga musajja oba mukazi mugumba, wadde ekisolo ekitazaala mu magana gammwe. 15 Mukama anaaziyizanga buli bulwadde okubakwata. Era taabalwazenga ndwadde mbi ez'e Misiri ze mumanyi, naye anaazirwazanga abo bonna ababakyawa. 16 Muzikirizenga ab'amawanga gonna, Mukama Katonda wammwe g'anaateekanga mu mikono gyammwe. Temuubakwatirwenga kisa. Temuusinzenga balubaale baabwe, kubanga ekyo mmwe kiribafuukira omutego. 17 “Bwe muneebuuzaganyanga nti: ‘Ab'amawanga gano nga batusinga obungi! Tuyinza tutya okubagobamu?’ 18 Temubatyanga. Mujjukire Mukama Katonda wammwe kye yakola ku kabaka w'e Misiri ne ku Misiri yonna. 19 Mujjukire ebigezo eby'amaanyi bye mwalabako n'amaaso gammwe, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'obuyinza obungi n'amaanyi, Mukama Katonda wammwe bye yakozesa okubanunulayo mmwe. Bw'atyo Mukama Katonda wammwe bw'alikola ne ku b'amawanga gonna ge mutya. 20 Era Mukama Katonda wammwe alisindika ennumba mu bo, okutuusa lw'alizikiriza abo abaliba basigaddewo nga babeekwese mmwe. 21 Temutyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe ali nammwe, ate nga mukulu era wa ntiisa. 22 Ab'amawanga ago anaabagobangamu mpola mpola nga mutuuka mu nsi eyo. Temuliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu ttale zireme kweyongera bungi na kubayitirirako. 23 Naye Mukama Katonda wammwe aliwaayo abalabe bammwe mu mikono gyammwe era bo alibakuba entiisa ey'amaanyi, okutuusa lwe balizikirizibwa. 24 Aliwaayo bakabaka baabwe mu mikono gyammwe. Mulibazikiriza, ne beerabirwa ku nsi. Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe. Mulibasaanyaawo. 25 Ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, mubyokyanga omuliro. Temuululunkanirenga ffeeza wadde zaabu abiriko, era temuumutwalenga, sikulwa ng'abafuukira omutego, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala. 26 Temuuleetenga kya muzizo na kimu mu mayumba gammwe, nammwe muleme kukolimirwa nga kyo. Mukikyayiranga ddala era mukitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda