Online Bible

- Advertisements -


Et 3 - Luganda Bible 2003


Abayisirayeli bawangula Ogi Kabaka w'e Basani
(Laba ne Kubal 21:31-35 )

1 “Ebyo bwe byaggwa, ne tukyuka ne tukwata ekkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo mu Edereyi.

2 Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Tomutya, kubanga nja kumuwaayo ye, n'abantu be bonna, n'ensi ye mu mikono gyo, omukoleko kye wakola ku Sihoni kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.’

3 “Awo Mukama Katonda waffe n'atuwa ne Ogi, kabaka w'e Basani n'abantu be, bonna ne tubatta obutalekaawo n'omu.

4 Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani.

5 Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwako ebigo ebigulumivu, n'emiryango egirimu enzigi ezirina ebisiba. Waaliwo n'ebyalo bingi nnyo ebitaaliko bigo.

6 Ne tusaanyaawo ebibuga byonna, ne tuzikiriza abantu bonna abasajja n'abakazi n'abaana abato, nga bwe twakola mu bibuga ebyali ebya Sihoni kabaka w'e Hesubooni.

7 Naye ente zonna n'ebintu bye twanyaga mu bibuga, ne tubyetwalira nga gwe munyago gwaffe.

8 “Era mu kiseera ekyo, ne tuwamba ensi za bakabaka abo bombi ab'Abaamori abaabeeranga emitala wa Yorudaani, okuva ku Kiwonvu Arunoni okutuuka ku Lusozi Herumooni.

9 Olusozi Herumooni, Abasidoni baluyita Siriyooni, ate Abaamori baluyita Seniri.

10 Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani: ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gileyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi.

11 “Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Bareefa. Ekitanda kye eky'ekyuma kyali kya mita nnya obuwanvu, ne mita kumpi bbiri obugazi, mu kipimo ekitongole abantu kye baapimisanga. Ekitanda ekyo kikyaliyo mu Rabba, ekibuga ky'Abammoni.


Ebika by'Abayisirayeli ebyasenga ebuvanjuba bwa Yorudaani
(Laba ne Kubal 32:1-42 )

12 “Bwe twefuga ensi eyo mu biseera ebyo, ne mpa Abarewubeeni n'Abagaadi ekitundu ekitandikira ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu Arunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi ez'e Gileyaadi, n'ebibuga byamu.

13 Ekitundu kya Gileyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna obwali obwakabaka bwa Ogi, kwe kugamba ekitundu kyonna ekya Arugobu, ne mbiwa ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse.” (Basani yonna yali eyitibwa nsi ya Bareefa.

14 Yayiri ow'omu Kika kya Manasse n'agabana ekitundu kyonna eky'e Arugobu, kye ky'e Basani, okutuukira ddala ku nsalo n'Abagesuri n'Abamaaka. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma erinnya lye, era bimanyiddwa ng'Ebyalo bya Yayiri n'okutuusa kati.)

15 “Makiri ne mmuwa Gileyaadi.

16 Abarewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, ng'amakkati g'Ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abammoni mu bukiikakkono.

17 Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku Mugga Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya mu bukiikakkono, okukkira ddala ku Nnyanja y'Omunnyo mu bukiikaddyo, n'okutuuka ku bigere by'Olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.

18 “Ne mbalagira mu kiseera ekyo nti: ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugyefuga. Kale abaserikale bammwe bonna, basomoke Yorudaani nga babagalidde ebyokulwanyisa, bakulemberemu baganda baabwe ab'Ebika bya Yisirayeli ebirala.

19 Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato, n'amagana gammwe (mmanyi nga mulina amagana mangi), bisigale mu bibuga byammwe, bye nabawa.

20 Muyambe baganda bammwe, okutuusa lwe balyefuga ensi, Mukama gy'abawa emitala wa Yorudaani, era okutuusa nabo Mukama lw'alibawa okutebenkera nga mmwe. Olwo mulikomawo, ne mudda, buli muntu ku butaka bwe, bwe nabawa.’

21 “Ne ndagira Yoswa mu kiseera ekyo, nti: ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba.

22 Temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye ajja okubalwanirira mmwe.’


Musa agaanibwa okuyingira mu Kanaani

23 “Ne neegayirira Mukama mu kiseera ekyo nga ŋŋamba nti:

24 ‘Ayi Mukama Katonda nze omuweereza wo ondazeeko ntandikwa butandikwa ey'ebikulu era eby'amaanyi by'ogenda okukola. Teri Katonda mulala mu ggulu ne mu nsi ayinza okukola eby'amaanyi by'okoze.

25 Nkusaba onzikirize nsomoke, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yorudaani, ensi eyo ennungi ey'ensozi, ne Lebanooni.’

26 “Naye Mukama n'ansunguwalira olw'okubeera mmwe, n'atampuliriza. N'aŋŋamba nti: ‘Ekyo kirekere awo. Toddayo kwogera nange ku kigambo ekyo.

27 Yambuka ku ntikko y'Olusozi Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba ne mu bukiikakkono, ebuvanjuba, ne mu bukiikaddyo, ensi eyo ogirengere bulengezi, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yorudaani.

28 Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’

29 “Awo ne tusigala mu kiwonvu ekitunuulidde Beti Pewori.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements