Online Bible

- Advertisements -


Et 21 - Luganda Bible 2003


Ebyogera ku batemu abatamanyiddwa

1 “Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugyefuga, omuntu bw'anattibwanga, n'asangibwa mu nnimiro oba ttale, ng'amusse tamanyiddwa,

2 abakulembeze n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo.

3 Abakulembeze b'ekibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaatwalanga ennyana etekozesebwangako mirimu, era etebangako ky'ewalula ng'eri mu kikoligo,

4 abakulembeze abo ne bagiserengesa mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitalimwanga era ekitasigibwangamu birime, ne bamenya era ne bakutulira ensingo yaayo mu kiwonvu ekyo.

5 Ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi banajjanga, kubanga abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, era be basalawo ensonga z'abakaayana, n'abalwanaganye.

6 Olwo abakulembeze bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nnyana emenyeddwa ensingo mu kiwonvu,

7 nga bagamba nti: ‘Si ffe twatemula omuntu ono, era tetumanyi yamutemula.

8 Ayi Mukama, kwatirwa ekisa abantu bo Abayisirayeli be wanunula, oleme kubateekako musango gwa kutemula muntu ataliiko musango.’

9 Kale bwe munaakolanga ebyo Mukama by'alaba nti bituufu, munaggyibwangako omusango ogw'obutemu.


Abakazi abanyagibwa mu ntalo

10 “Bwe munaatabaalanga abalabe bammwe, Mukama Katonda wammwe n'abawa abalabe bammwe abo ne mubawangula ne mubatwala nga basibe,

11 ggwe n'olabamu omukazi omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa,

12 onoomutwalanga ewuwo mu nnyumba yo. Anaamwangako enviiri ze, era anaasalanga enjala ze,

13 n'akyusa engoye ze yawambirwamu, n'abeera mu nnyumba yo. Anaamalanga omwezi mulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina, n'oluvannyuma n'olyoka weebaka naye, n'ofuuka bba, naye n'afuuka mukazi wo.

14 Awo bw'onoolabanga nga takyakusanyusa, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala, wabula toomutundengamu nsimbi. Toomuyisenga nga muzaana, kubanga wamutoowaza.


Obusika bw'omwana omulenzi omuggulanda

15 “Omusajja bw'anaabanga n'abakazi babiri, ng'omu gw'asinga okwagala, ng'omulala si muganzi, nga bombi baamuzaalira abaana, kyokka ng'omwana omulenzi omuggulanda wa mukazi atali muganzi,

16 omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omuggulanda, mu kifo ky'omwana omulenzi omuggulanda omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi.

17 Wabula anakkirizanga nti omwana ow'omukazi atali muganzi ye mwana omuggulanda, n'awa omwana oyo omugabo gwe ogw'emirundi ebiri, ku bintu bye byonna by'alina, kubanga ye mwana eyasooka okuva mu maanyi ge. N'olwekyo eby'omwana omulenzi omuggulanda bibye.


Omwana omulenzi omujeemu

18 “Omuzadde bw'anaabanga alina mutabani we ow'emputtu era omujeemu, atagondera kitaawe oba nnyina, era nga ne bwe bamubonereza, takkiriza kubawulira,

19 olwo bazadde be abo banaamutwalanga eri abakulembeze b'ekibuga ky'ewaabwe,

20 ne bategeeza abakulembeze abo nti: ‘Omwana waffe ono wa mputtu era mujeemu, takyakkiriza kugondera bye tumugamba. Wa mpisa mbi era mutamiivu.’

21 Awo abasajja bonna ab'omu kibuga ky'ewaabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu mmwe. Kale buli anaawuliranga ekyo mu Yisirayeli, anaatyanga.


Amateeka amalala

22 “Omuntu bw'anaakolanga ekibi ekimusaanyiza okufa, ne mumuwanika ku muti,

23 omulambo gwe teguusulenga ku muti, wabula munaamuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikiddwa, aba akolimiddwa Katonda. Kale mulemenga kufaafaaganya nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements