Online Bible

- Advertisements -


Engero 2 - Luganda Bible 2003


Ebirungi ebiva mu magezi

1 Mwana wange, singa ossa omwoyo ku bye nkuyigiriza, n'oteerabiranga bye nkulagira okukola;

2 n'owuliranga ebigambo eby'amagezi, era n'ofubanga okubitegeera;

3 n'osabanga ofune amagezi, ne weegayiriranga oweebwe okutegeera;

4 amagezi n'oganoonyanga ng'anoonya ffeeza, era ng'awenja ebyobugagga ebyakwekebwa,

5 olwo olitegeera okutya Mukama, n'ovumbula okumanya Katonda,

6 kubanga Mukama ye agaba amagezi, ye atuwa okumanya n'okutegeera.

7 Amagezi amatuufu agaterekera abalongoofu, n'akuuma abeewala okwonoona,

8 alyoke akuume obwenkanya, alabirire abo abakola by'ayagala.

9 Bw'ossa omwoyo ku bye nkutegeeza, olimanya ebituufu n'eby'amazima, n'eby'obwenkanya. Olimanya by'osaanidde okukola.

10 Olifuuka mugezi, okumanya ne kukusanyusa.

11 Okuteesa obulungi kunaakulabiriranga, n'okutegeera kukukuumenga,

12 kukuwonyenga okukola ebitasaana, era kukuwonyenga abo aboogera ebitabula abantu.

13 Kubakuwonyenga abo abavudde ku kukolanga ebituufu, ne badda mu kukolanga ebibi,

14 abasanyuka okwonoona, era abaaniriza ebikolwa by'abantu aboonoonefu.

15 Bo bantu abakyukakyuka, era abatayinza kwesigika.

16 Olisobola okuwona omukazi ow'empisa embi, agezaako okukusendasenda n'akalimi akawoomerevu.

17 Omukazi ow'engeri eyo, aleka bba gwe yafumbirwa mu buvubuka, ne yeerabira Katonda bye yalagira.

18 Kale okugenda ku nnyumba ye, kuba kugenda magombe. Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala mu bafu.

19 Abamukyalira tebadda, tebakomawo mu kkubo ery'obulamu.

20 Kale goberera ekyokulabirako eky'abantu abalungi, okwatenga empisa z'abakola ebituufu,

21 kubanga ab'omwoyo omulongoofu be banakkaliranga mu nsi; abataliiko kamogo, be baligisigalamu.

22 Naye Katonda alimalawo ababi mu nsi, n'aboonoonyi balisimbulibwamu.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements