Online Bible

- Advertisements -


Abalam 7 - Luganda Bible 2003


Gidiyoni awangula Abamidiyaani

1 Awo Yerubbaali, ye Gidiyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bazuukuka mu makya, ne basiisira ku lusozi Harodi. Olusiisira lw'Abamidiyaani lwali mu kiwonvu, ku ludda lwabwe olw'ebukiikakkono ku mabbali g'Olusozi More.

2 Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okubawa okuwangula Abamidiyaani. Abayisirayeli bayinza okunneewaanirako nga bagamba nti bawangudde lwa maanyi gaabwe.

3 Kale nno kaakano langirira mu bantu nti: ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku Lusozi Gileyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu ne basigala.

4 Awo Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu bakyayinze obungi. Baserengese ku mazzi, mbakulonderemu eyo. Oyo gwe nnaakugamba nti anaagenda naawe, oyo ye anaagenda naawe. Era buli gwe nnaakugamba nti ono tagenda naawe, ye ataagende naawe.”

5 Gidiyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti: “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.”

6 Abaasena amazzi mu bibatu byabwe ne bagakomba n'olulimi, baali ebikumi bisatu. Abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.

7 Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Nja kubanunula mmwe nga nkozesa abasajja abo ebikumi bisatu abakombye amazzi, nkuwe okuwangula Abamidiyaani. Abalala bonna baddeyo ewaabwe.”

8 Gidiyoni n'asindika Abayisirayeli bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebikumi ebisatu, be yasigala nabo, ne basigaza ebyokulya byonna n'eŋŋombe.

9 Ekiro ekyo, Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Situka, olumbe olusiisira; ndukuwadde oluwangule.

10 Naye oba ng'otya okulumba, serengetayo ne Pura omuweereza wo.

11 Ojja kuwulira bye boogera, olyoke ofune amaanyi okulumba olusiisira.” Awo Gidiyoni n'aserengeta n'omuweereza we Pura ku njegoyego y'olusiisira lw'omulabe.

12 Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamiya ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.

13 Gidiyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti: “Naloose omugaati gwa bbaale, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.”

14 Munne n'addamu nti: “Ekyo kitala kya Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi, Omuyisirayeli! Tekitegeeza kirala! Katonda amuwadde okuwangula Midiyaani n'eggye lyaffe lyonna.”

15 Gidiyoni bwe yawulira ekirooto ky'omusajja n'amakulu gaakyo, n'asinza Katonda, n'addayo mu lusiisira lw'Abayisirayeli, n'agamba nti “Musituke! Mukama abawadde mmwe okuwangula eggye ly'Abamidiyaani.”

16 Basajja be ebikumi ebisatu n'abagabanyaamu ebibinja bisatu. Buli musajja n'amukwasa eŋŋombe n'ensuwa enkalu, ng'erimu omumuli.

17 N'abagamba nti: “Bwe nnaatuuka ku njegoyego y'olusiisira, muntunuulire! Kye nnaakola, nammwe kye muba mukola.

18 Nze ne bonna abali nange bwe tunaafuuwa eŋŋombe zaffe, olwo nammwe ne mufuuwa ezammwe wonna okwetooloola olusiisira, ne muleekaana nti: ‘Ku lwa Mukama ne ku lwa Gidiyoni!’ ”

19 Awo Gidiyoni n'abasajja kikumi abaali naye, ne batuuka ku njegoyego y'olusiisira, ng'obudde bubulako katono okutuuka ettumbi, nga kye bajje bakyuse abakuumi. Ne bafuuwa eŋŋombe zaabwe, ne baasa ensuwa ze baali bakutte.

20 N'ab'ebibinja ebirala ebibiri ne bakola kye kimu. Bonna ne bakwata emimuli mu mikono gyabwe egya kkono, n'eŋŋombe mu gya ddyo, ne baleekaana nti: “Ekitala kya Mukama era kya Gidiyoni!”

21 Buli omu n'ayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira. Ab'eggye lyonna ery'omulabe ne badduka nga baleekaana.

22 Abasajja ba Gidiyoni bwe bafuuwa eŋŋombe zaabwe, Mukama n'aleetera ab'eggye ly'omulabe okulumbagana bokka na bokka, buli omu ng'alwanyisa munne n'ekitala. Ne badduka okutuuka e Betusitta, okwolekera Zerera, okutuuka ku nsalo ne Abeli Mewola, okumpi ne Tabbati.

23 Abasajja Abayisirayeli ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu Bika ekya Nafutaali n'ekya Aseri n'ekya Manasse kyonna, ne bawondera Abamidiyaani.

24 Gidiyoni n'atuma ababaka mu nsi yonna eya Efurayimu ey'ensozi, nga bagamba nti: “Muserengete okulwanyisa Abamidiyaani. Mwekwate Omugga Yorudaani n'ebitundu ebirala eby'amazzi okutuuka e Betubara.”

25 Ne bakwata abalangira ba Midiyaani ababiri Orebu ne Zeebu, ne battira Orebu ku Lwazi lwa Orebu, ne Zeebu ne bamuttira mu Ssogolero lya Zeebu. Ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Emitwe gya Orebu ne Zeebu ne bagireetera Gidiyoni emitala wa Yorudaani.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements