Abalam 4 - Luganda Bible 2003Omulamuzi Debora ne Baraki 1 Ehudi bwe yamala okufa, Abayisirayeli ne baddamu okukola ebibi ne banyiiza Mukama. 2 Mukama n'abaleka okuwangulwa Yabini, Kabaka wa Kanaani, eyafugiranga mu kibuga Azori. Omuduumizi w'eggye lye yali Sisera, ng'abeera mu Haroseti-Hagoyiimu. 3 Yabini yalina amagaali lwenda ag'ebyuma, n'afuga Yisirayeli n'obukambwe okumala emyaka amakumi abiri. Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama abayambe. 4 Mu biro ebyo, Debora muka Lappidoti, yali mulanzi, era nga mulamuzi wa Bayisirayeli. 5 Yatuulanga wansi w'Olukindu lwa Debora, wakati wa Raama ne Beteli, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Eyo Abayisirayeli gye baagendanga gy'ali okubasalira emisango. 6 Awo n'atumya Baraki mutabani wa Abinowamu mu Kibuga Kedesi eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli akulagidde nti: ‘Twala abasajja omutwalo gumu ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Tabori. 7 Sisera omuduumizi w'eggye lya Yabini nja kumuleeta okukulwanyisa ku Mugga Kisoni. Ajja n'amagaali ge n'abaserikale be, kyokka nja kukusobozesa okumuwangula.’ ” 8 Baraki n'amugamba nti: “Ggwe bw'onoogenda nange, kale nnaagenda. Naye bw'otoogende nange, sijja kugenda.” 9 Debora n'addamu nti: “Mazima nja kugenda naawe. Naye ekitiibwa eky'obuwanguzi tekijja kuba kikyo, kubanga Mukama ajja kuwaayo Sisera awangulwe omukazi.” Awo Debora n'asituka, n'agenda ne Baraki e Kadesi. 10 Baraki n'ayita ab'Ekika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni e Kadesi, abasajja omutwalo gumu, ne bamugoberera. Debora n'agenda wamu naye. 11 Mu kiseera ekyo, Heberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni banne, bazzukulu ba Hobabu, kitaawe wa muka Musa, n'asimba eweema ye awali omuvule mu Zenannimu, okumpi n'e Kadesi. 12 Sisera bwe baamubuulira nti Baraki, mutabani wa Abinowamu ayambuse ku Lusozi Tabori, 13 Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna olwenda ag'ebyuma, ne basajja be bonna abaali naye, ne bava e Haroseti-Hagoyiimu, ne balaga ku Mugga Kisoni. 14 Debora n'agamba Baraki nti: “Genda! Mukama akukulembedde. Olwaleero akuwadde okuwangula Sisera.” Awo Baraki n'akkirira olusozi Tabori wamu ne basajja be omutwalo gumu. 15 Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna, n'eggye lye lyonna n'ebyokulwanyisa, mu maaso ga Baraki. Sisera n'ava mu ggaali ye, n'addusa bigere. 16 Baraki n'awondera amagaali era n'eggye okutuuka mu Aroseti ekya Bannamawanga. Eggye lya Sisera lyonna ne littibwa. Ne watasigalawo muntu n'omu. 17 Sisera n'addusa bigere n'atuuka ku weema ya Yayeli muka Heberi Omukeeni, kubanga Yabini Kabaka wa Azori yali mirembe n'ab'ennyumba ya Heberi. 18 Yayeli n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti: “Mukama wange, yingira omwange totya.” Sisera n'ayingira mu weema. Yayeli n'amukweka mu lutimbe. 19 Sisera n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mazzi nnyweko, kubanga ennyonta ennuma.” Yayeli n'asumulula ensawo ey'eddiba omubeera amata, n'amuwa n'anywa, n'amukweka nate. 20 Sisera n'agamba Yayeli nti: “Yimirira mu mulyango gwa weema. Bwe wabaawo ajja n'akubuuza nti waliwo omusajja ali muno ogamba nti: ‘Nedda.’ ” 21 Sisera yali akooye nnyo, ne yeebaka otulo tungi. Awo Yayeli n'akwata enkondo ya weema n'ennyondo, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi n'eyitamu n'ekwata n'ettaka. Bw'atyo Sisera n'afa. 22 Baraki bwe yajja ng'awondera Sisera, Yayeli n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti: “Jjangu nkulage omusajja gw'onoonya.” Awo Baraki n'ayingira ne Yayeli, n'asanga Sisera ng'agaŋŋalamye afudde, nga n'enkondo ekomereddwa mu kyenyi kye. 23 Bw'atyo ku lunaku olwo, Katonda n'awa Abayisirayeli okuwangula Yabini Kabaka wa Kanaani. 24 Abayisirayeli ne beeyongera okumunyigiriza okutuusa lwe baamala okumuzikiriza. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda