Online Bible

- Advertisements -


Abalam 3 - Luganda Bible 2003


Ab'amawanga amalala agaasigala mu nsi eyo

1 Kale Mukama n'aleka ab'amawanga agamu okusigala mu nsi eyo okugeza Abayisirayeli abataalaba ku ntalo z'e Kanaani.

2 Ekyo yakikola, nga ky'ayagala, kwe kuyigiriza eby'entalo Abayisirayeli aba buli mulembe, naddala abo abaali tebabeerangako mu lutalo.

3 Abo abaalekebwa mu nsi eyo, be b'omu bibuga by'Abafilistiya ebitaano, n'Abakanaani bonna, n'Abasidoni n'Abahiivi, abatuuze b'omu nsozi z'omu Lebanooni okuva ku Lusozi Baali Herumooni, okutuuka awayingirirwa mu Hamati.

4 Baali ba kugeza Bayisirayeli okulaba oba nga banaawuliranga ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe, ng'ayita mu Musa.

5 Abayisirayeli ne babeera mu Bakanaani n'Abahiiti, n'Abayebusi.

6 Ne bawasa abakazi mu bantu abo, era ne bafumbizaamu bawala baabwe era ne basinzanga balubaale baabwe.


Omulamuzi Otiniyeeli

7 Abayisirayeli ne beerabira Mukama, Katonda waabwe, ne bakola ebibi ne bamunyiiza, ne basinza balubaale Baali ne Asera.

8 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayeli, n'aleka Kusani Risatayimu, kabaka wa Mesopotaamiya okubawangula, n'abafugira emyaka munaana.

9 Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu eyabanunula, ye Otiniyeeli, mutabani wa Kalebu, muto wa Kenazi.

10 Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye, n'akulembera Yisirayeli. N'agenda mu lutalo, Mukama n'amuwa okuwangula Kusani Risatayimu, kabaka wa Mesopotaamiya.

11 Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana. Otiniyeeli n'afa.


Omulamuzi Ehudi

12 Abayisirayeli ne baddamu okukola ebibi ne banyiiza Mukama. N'olwekyo Mukama n'awa Egulooni kabaka wa Mowaabu amaanyi okulwanyisa Yisirayeli.

13 Egulooni ne yeegatta n'Abammoni n'Abamaleki, ne bawangula Yisirayeli, ne bawamba Yeriko, ekibuga eky'enkindu.

14 Abayisirayeli ne bafugibwa Egulooni okumala emyaka kkumi na munaana.

15 Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu okubanunula, ye Ehudi mutabani wa Gera, Omubenyamiini. Ehudi oyo yali wankonokono. Abayisirayeli ne bakwasa Ehudi ebirabo abitwalire Egulooni kabaka wa Mowaabu.

16 Ehudi yali yeeweeserezza ekitala eky'obwogi ku njuyi zombi, nga kiweza sentimita ng'amakumi ataano obuwanvu. N'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo, munda mu ngoye ze.

17 N'atwalira Egulooni Kabaka wa Mowaabu ebirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo.

18 Ehudi bwe yamala okuwaayo ebirabo, n'alagira abantu abaabyetikka baddeyo ewaabwe.

19 Naye Ehudi kennyini n'akoma ku mayinja amoole agaali okumpi ne Gilugaali, n'addayo eri Egulooni, n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnina obubaka obw'okukuwa mu kyama.” Awo Kabaka n'alagira abaweereza be nti: “Mutuleke ffekka!” Bonna ne bava w'ali ne bafuluma.

20 Kabaka bwe yali ng'atudde yekka mu kisenge kye ekiweweevu eky'okuwummuliramu ekya waggulu, Ehudi n'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Nnina obubaka bwo obuvudde eri Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye.

21 Ehudi n'akozesa omukono gwe ogwa kkono, n'aggyayo ekitala ku kisambi kye ekya ddyo, n'akifumita kabaka mu lubuto.

22 Ekitala kyonna ne kimubuliramu n'ekiti kyakyo, amasavu ne gazibikira we kiyingiridde. Ehudi teyakisikaamu mu lubuto lwa kabaka, ne kiggukira emabega.

23 Awo Ehudi n'afuluma n'amuggaliramu, enzigi n'azisiba,

24 n'agenda. Abaweereza bwe bajja ne balaba ng'enzigi z'ekisenge ekyawaggulu nsibe, ne balowooza nti kabaka mw'ali yeeteewuluzaako mu kasenge akoomunda.

25 Ne balindako ebbanga lye baalowooza nti limala. Bwe baalaba nga taggulawo, ne bakwata ekisumuluzo, ne baggulawo. Ne basanga mukama waabwe ng'agudde wansi afudde.

26 Ehudi n'atoloka nga bakyalindirira. N'ayita mu mayinja amoole, n'atuuka gy'anaawonera e Seyira.

27 Bwe yatuuka eyo mu nsi ya Efurayimu, n'afuuwa eŋŋombe okuyita Abayisirayeli. N'abakulembera, ne baserengeta wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi.

28 N'agamba nti: “Mungoberere, Mukama abawadde okuwangula abalabe bammwe Abamowaabu.” Ne bagoberera Ehudi, ne baserengeta, ne beekwata ekifo Abamowaabu we baali ab'okusomokera Omugga Yorudaani, ne bataganya muntu n'omu kusomoka.

29 Ku mulundi ogwo ne batta mu Bamowaabu abasajja nga omutwalo gumu ab'amaanyi era abazira, ne watabaawo awonawo.

30 Ku lunaku olwo Abayisirayeli ne bawangula Mowaabu. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.


Omulamuzi Samugaari

31 Omukulembeze eyaddirira, yali Samugaari, mutabani wa Anati. Naye yanunula Yisirayeli bwe yatta Abafilistiya lukaaga n'omuwunda.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Follow us:



Advertisements