Abalam 2 - Luganda Bible 2003Malayika wa Mukama ayogera n'Abayisirayeli 1 Awo Malayika wa Mukama n'ava e Gilugaali n'agenda e Bokimu, n'agamba Abayisirayeli nti: “Nabaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nasuubiza bajjajjammwe. Nagamba nti sirimenya ndagaano yange gye nakola nammwe. 2 Temuukolenga ndagaano na bantu abali mu nsi eno. Mumenyewo alutaari zaabwe. Naye mmwe temukoze nga bwe nabalagira. Lwaki mujeemye? 3 Kale kaakano mbagamba nti sirigobayo bantu abo nga mugendayo. Banaabanga balabe bammwe, era munaakemebwanga okusinza balubaale baabwe.” 4 Malayika wa Mukama bwe yamala okwogera ebyo, Abayisirayeli bonna ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. 5 Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Bokimu, ne baweera eyo ebitambiro eri Mukama. Okufa kwa Yoswa 6 Awo Yoswa n'asiibula Abayisirayeli ne bagenda, buli omu okufuna ekitundu ky'ensi kye yagabana. 7 Abayisirayeli baaweerezanga Mukama ebbanga lyonna Yoswa lye yamala nga mulamu, era n'ebbanga lyonna, nga wakyaliwo abakulembeze, abaamusinga okuwangaala, abaalaba ku bikuuno byonna, Mukama bye yakolera Yisirayeli. 8 Omuweereza wa Mukama, mutabani wa Nuuni, yafa ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi. 9 Ne bamuziika mu kitundu kye, kye yagabana mu Timunati Sera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, mu bukiikakkono obw'olusozi Gaasi. 10 Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Yisirayeli. Abayisirayeli tebasinza Mukama 11 Awo Abayisirayeli ne bakola ekyanyiiza Mukama, ne basinza Babbaali. 12 Ne bava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne basinza balubaale, ab'abantu ababeetoolodde, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama. 13 Mukama baamuvaako, ne baweereza Baali ne Asitarooti. 14 Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'abawaayo eri abanyazi ne babanyagako ebyabwe. N'aleka abalabe baabwe bonna abaali babeetoolodde, ne babawangula, Abayisirayeli nga tebakyasobola kwetaasa. 15 Buli lwe baagendanga mu lutalo, nga Mukama abaleetera akabi, nga bwe yali agambye okukola. Ne beeraliikirira nnyo! 16 Mukama n'abawa abakulembeze okubawonya abanyazi. 17 Naye Abayisirayeli ne batawuliriza bakulembeze baabwe. Ne bataba beesigwa eri Mukama, wabula ne basinza balubaale. Bajjajjaabwe baawuliranga ebiragiro bya Mukama, naye bano tebaakola bwe batyo. 18 Mukama bwe yawanga Abayisirayeli omukulembeze, Mukama yayambanga omukulembeze oyo, era yabawonyanga abalabe baabwe, ebbanga lyonna omukulembeze lye yamalanga nga mulamu. Mukama yabakwatirwanga ekisa, kubanga baasindanga olw'okubonyaabonyezebwa n'okunyigirizibwa. 19 Naye omukulembeze bwe yafanga, abantu baddanga mu mize gyabwe egy'edda, ne baba babi n'okusinga bajjajjaabwe. Baaweerezanga era baasinzanga balubaale, ne bagaana okulekayo empisa zaabwe embi. 20 Awo Mukama n'asunguwalira nnyo Yisirayeli, n'agamba nti: “Ab'eggwanga lino bamenye endagaano gye nalagira bajjajjaabwe okukuumanga, era tebakyampulira. 21 Kale nange okuva leero sikyagobyemu ba mawanga agaali gakyali mu nsi eno, Yoswa we yafiira. 22 Nja kuyita mu bo okugeza Abayisirayeli, ndabe oba nga banaakwatanga, oba tebaakwatenga makubo gange, nga bajjajjaabwe bwe baagakwatanga.” 23 N'olwekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ago mu nsi eyo, n'atabagobaamu mangu era n'ataganya Yoswa kubawangula. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda