Abaefeso 6 - Luganda Bible 2003Abazadde n'abaana baabwe 1 Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu Mukama, kubanga ekyo kye kituufu. 2 “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” kye kiragiro ekisooka, ekirimu okusuubiza nti: 3 “lw'onoobanga obulungi, era n'owangaala ku nsi.” 4 Mmwe abazadde b'abaana muleme kunyiizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula, era nga mubayigiriza ebya Mukama. Abaddu ne bakama baabwe 5 Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubawulirenga nga temuliimu bukuusa, nga bwe muwulira Kristo. 6 Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula ekyo Katonda ky'ayagala, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abaddu ba Kristo. 7 Muweerezenga n'omutima omulungi ng'abakolera Mukama, sso si ng'abakolera abantu. 8 Mumanye nti buli muntu, oba muddu, oba wa ddembe, buli kirungi ky'akola, Mukama ky'alimusasula. 9 Nammwe bakama b'abaddu muyisenga bwe mutyo abaddu bammwe mu mwoyo gwe gumu,nga temubatiisa. Mumanyi nti Mukama waabwe, era owammwe ali mu ggulu, era ye tasosola mu bantu. Ebyokulwanyisa bya Katonda 10 Eky'enkomerero, mube bagumu mu Mukama waffe, munywezebwe obuyinza bw'amaanyi ge. 11 Mukozesenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okuziyiza enkwe za Sitaani. 12 Tetulwanyisa bantu buntu, wabula tulwanyisa amagye g'emyoyo emibi egy'omu bbanga, egy'abakungu, egy'ab'obuyinza, n'egy'abafuzi ab'omu nsi eno ey'ekizikiza. 13 N'olwekyo mukwatenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, musobole okuguma ku lunaku olw'akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli bagumu. 14 Kale muyimirire nga mwenywezezza, ng'amazima lwe lukoba lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng'okukola ebituufu, kye kyambalo kyammwe eky'ekyuma eky'omu kifuba. 15 Okwetegeka kwammwe kubabeerere ng'engatto mu bigere byammwe, nga mugenda okulangirira Amawulire Amalungi, agaleeta emirembe. 16 Okusinga byonna, okukkiriza kubabeerere engabo eneebasobozesanga okuziyiza obusaale bwonna obw'omuliro, obulasibwa Omubi. 17 Era mwetikkire obulokozi nga ye nkuufiira yammwe eŋŋumu, mukwate n'ekitala eky'omwoyo, kye kigambo kya Katonda. 18 Bulijjo musabenga Katonda, nga mumwegayirira abayambe. Mumusabenga nga Mwoyo bw'anaabaluŋŋamyanga. Ekyo mukikolenga nga temuterebuka, musabirenga abantu ba Katonda bonna. 19 Nange munsabire, bwe nnaabanga njogera, mpeebwe eby'okwogera, era mbyogere n'obuvumu, nga mmanyisa abantu ekyama ky'Amawulire Amalungi. 20 Ndi mubaka w'Amawulire ago Amalungi newaakubadde nga ndi mu kkomera. Munsabire mbe n'obuvumu mu kugamanyisa abantu nga bwe kinsaanira. 21 Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa owa Mukama, alibategeeza byonna, mulyoke mumanye ebinfaako ne bye nkola. 22 Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye bwe tuli, era abagumye emitima. 23 Emirembe n'okwagala, awamu n'okukkiriza, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo, bibeerenga n'abooluganda bonna. 24 Katonda akwatirwenga ekisa abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo, emirembe n'emirembe. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda