Online Bible

- Advertisements -


Zabbuli 2 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya


Zabbuli 2

1 Lwaki amawanga geegugunga n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?

2 Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye, n’abafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti,

3 “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

4 Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

5 N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu, n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.

6 N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

7 Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama: kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nfuuse kitaawo.

8 Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.

9 Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma, era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka; muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.

11 Muweereze Mukama nga mumutya, era musanyuke n’okukankana.

12 Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®

Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.

Luganda Contemporary Bible

Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®

Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Biblica, Inc.
Follow us:



Advertisements