Yuda 1:9 - Luganda Bible 20039 Sso nga Mikayeli ssaabamalayika, bwe yali ayomba ne Sitaani, nga bakaayanira omubiri gwa Musa, teyaguma kumugamba bigambo bivuma ng'amusalira omusango, wabula yagamba nti: “Katonda akunenye!” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI9 Olaba ne Mikaeri, malayika omukulu, bwe yali akaayana ne Setaani ku mubiri gwa Musa, teyayaŋŋaanga ku muvuma, naye yagamba nti, “ Mukama akunenye.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya9 Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya9 Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yayomba ne Setaani n'ayogera naye olw'omubiri gwa Musa, teyayaŋŋanga kumuleetako musango gwa kuvuma, naye yagamba nti Mukama akunenye. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU9 Sso nga ne Mikayeli Ssaabamalayika, bwe yali yeezooba ne Sitaani ng'akaayana ku mubiri gwa Musa, teyaguma kumulamula mu ngeri yandimuvumye; yagamba bugambi nti: “Omukama akukomeko.” See the chapterLuganda DC Bible 20039 Sso nga Mikayeli ssaabamalayika, bwe yali ayomba ne Sitaani, nga bakaayanira omubiri gwa Musa, teyaguma kumugamba bigambo bivuma ng'amusalira omusango, wabula yagamba nti: “Katonda akunenye!” See the chapter |