Oluyimba 1:4 - Luganda Bible 20034 Ntwala gy'olaga tudduke tweggyewo. Ayi Ssaabasajja, nfuula owuwo, onnyingize mu kisenge kyo, tusanyukire wamu naawe, okwagala kwo tukutendereze okusinga omwenge. Abakwegomba baba batuufu. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI4 Mpalula, tunaakugoberera mbiro. Kabaka annyingizizza mu bisenge bye. Tunaakusanyukira ne tujaguliza mu ggwe, Okwagala kwo tunaakutendereza okusinga omwenge; Bakwagala lwa nsonga. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya4 Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Nga batuufu okukwegomba! See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya4 Mpalula: tunaakugoberera mbiro: Kabaka annyingizizza mu bisenge bye: Tunaakusanyukira ne tujaguza, Okwagala kwo tunaakwogerako okusinga omwenge: Bakwagala lwa nsonga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU4 Nsika, nkugoberere, tudduke; kabaka annyingizza mu bisenge bye. Ka tusagambize, tusanyukire mu ggwe; tujja kugulumiza okwagala kwo okutusingira n'evviini; batuufu abo abakwagala. See the chapterLuganda DC Bible 20034 Ntwala gy'olaga tudduke tweggyewo. Ayi Ssaabasajja, nfuula owuwo, onnyingize mu kisenge kyo, tusanyukire wamu naawe, okwagala kwo tukutendereze okusinga omwenge. Abakwegomba baba batuufu. See the chapter |