Mikka 1:4 - Luganda Bible 20034 Ensozi zirisaanuukira wansi we, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro. Zirikuluggukira mu biwonvu, ng'amazzi agava ku kasozi. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI4 N'ensozi zirisaanuuka wansi we, n'enkonko ziryatikayatika, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro, ng'amazzi agayiiriddwa okuva ku lusozi. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya4 N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro, ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya4 N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU4 Ensozi wansi we zisaanuuka, ebiwonvu biryebukamu ng'envumbo awali omuliro, ng'amazzi agakkirira akaserengeto. See the chapterLuganda DC Bible 20034 Ensozi zirisaanuukira wansi we, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro. Zirikuluggukira mu biwonvu, ng'amazzi agava ku kasozi. See the chapter |