Online Bible

- Advertisements -




Matayo 2:16 - Luganda Bible 2003

16 Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

16 Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamwefulidde, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaali bawezezza emyaka ebiri n'abatannagituusa, okusinziira ku biro bwe byali bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

16 Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

16 Erode bwe yalaba ng'abasajja bakalimagezi bamuguumaazizza, n'akalala nnyo; n'atuma n'atta mu Beteleemu ne mu byalo ebiriraanyeewo abaana bonna ab'obulenzi abaakamala emyaka ebiri n'okukka wansi, ng'alabira mu biro byennyini bye yabuulirizaamu abasajja bakalimagezi.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

16 Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye.

See the chapter Copy




Matayo 2:16

Follow us:

Advertisements


Advertisements