Online Bible

- Advertisements -




Malaki 2:16 - Luganda Bible 2003

16 Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

16 “Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

16 “Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

16 Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

16 “Nkyayira ddala abafumbo okwawukana, Omukama Katonda wa Yisirayeli y'agamba, n'omuntu okubikka ekyambalo kye n'obukambwe, Omukama w'Amagye y'agamba.” Kale nno weekuume oleme kumenya bwesigwa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

16 Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.”

See the chapter Copy




Malaki 2:16

Follow us:

Advertisements


Advertisements