Malaki 1:8 - Luganda Bible 20038 Bwe muleeta ensolo ezizibye amaaso, oba ennema, oba endwadde okuzintambirira, mulowooza nti ekyo si kikyamu? Kale ensolo ng'ezo muzitonere abafuzi bammwe. Banaabasanyukira? Banaabasiima?” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI8 Era bwe muwaayo ensolo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, obwo si bubi! Era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, obwo nabwo si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? Oba anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye, See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya8 Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya8 Era bwe muwaayo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, nga si bubi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, nga si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? oba anakkiriza amaaso go? bw'ayogera Mukama w'eggye. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU8 Bwe muleeta ebisolo ebizibe by'amaaso bitambirwe, ekyo si kikyamu? Bwe muweereza ebisolo ebirema n'ebirwadde, ekyo si kikyamu? Mubiweereze owessaza wammwe mulabe! Anaabasiima? Anaabasanyukira? Omukama w'Amagye y'agamba. See the chapterLuganda DC Bible 20038 Bwe muleeta ensolo ezizibye amaaso, oba ennema, oba endwadde okuzintambirira, mulowooza nti ekyo si kikyamu? Kale ensolo ng'ezo muzitonere abafuzi bammwe. Banaabasanyukira? Banaabasiima?” See the chapter |