Online Bible

- Advertisements -




Malaki 1:13 - Luganda Bible 2003

13 Mugamba nti: ‘Ebyo byonna tubikooye!’ Era ne mwesooza! Ensolo gye mwanyaga, oba ennema, oba endwadde, gye muleeta okuntonera. Mulowooza nti eyo nnyinza okugikkiriza?

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

13 Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! Era munsoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo, nnandikkiriza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

13 Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

13 Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! era mugisoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkirizza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

13 Ne mugamba nti: ‘Kuno kukabiriza!’ Ne mugyenyinyimbwa, Omukama w'Amagye y'agamba. Muddira ensolo ennyage, ennema n'endwadde ne muzireeta ng'ebitone. Nze nsiime ezo okuva mu ngalo zammwe? Omukama y'agamba.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

13 Mugamba nti: ‘Ebyo byonna tubikooye!’ Era ne mwesooza! Ensolo gye mwanyaga, oba ennema, oba endwadde, gye muleeta okuntonera. Mulowooza nti eyo nnyinza okugikkiriza?

See the chapter Copy




Malaki 1:13

Follow us:

Advertisements


Advertisements