Online Bible

- Advertisements -




Makko 2:22 - Luganda Bible 2003

22 Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

22 Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge guyiika n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

22 Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

22 Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo ez'amaliba zoonoonekaz; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

22 Era tewali afuka vviini nsu mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini eyabya ensawo, evviini n'efiira bwereere, n'ensawo ne zifa. Naye evviini ensu eteekebwa mu nsawo mpya.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

22 Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.”

See the chapter Copy




Makko 2:22

Follow us:

Advertisements


Advertisements