Makko 2:19 - Luganda Bible 200319 Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza butalya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Ekiseera kyonna ky'amala nabo, tebasiiba. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI19 Yesu n'abagamba nti, “Abagenyi ba wasizza omugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? Bwe baba nga bakyali n'awasizza omugole, tebayinza kusiiba. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya19 Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo? See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya19 Yesu n'abagamba nti Abaana b'obugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? mu biro byonna nga bali naye awasizza omugole, tebayinza kusiiba. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU19 Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole ng'awasizza akyali nabo bayinza okusiiba? Ng'awasizza akyali nabo tebasobola kusiiba. See the chapterLuganda DC Bible 200319 Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza butalya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Ekiseera kyonna ky'amala nabo, tebasiiba. See the chapter |