Online Bible

- Advertisements -




Makko 1:45 - Luganda Bible 2003

45 Naye omusajja ono bwe yagenda, n'atandika okulaalaasa wonna, nga Yesu bwe yali amuwonyezza. Olw'ekyo nga Yesu takyasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, wabula okubeera ebbali, mu bifo ebitaalimu bantu. Eyo abantu gye baamusanganga, nga bava wonna.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

45 Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

45 Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

45 Naye n'afuluma, n'asooka okukibuulira ennyo n'okubunya ekigambo, n'okuyinza n'atayinza Yesu okuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye yali bweru mu malungu; ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

45 Naye ye olwafuluma, ekigambo n'atandika okukyogerako kyere n'okukiralaasa, Yezu nga takyayinza kuyingira mu lwatu mu kibuga, wabula yabeeranga bbali mu bifo ebyesudde. Abantu baagendanga gy'ali nga bava mu buli nsonda.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

45 Naye omusajja ono bwe yagenda, n'atandika okulaalaasa wonna, nga Yesu bwe yali amuwonyezza. Olw'ekyo nga Yesu takyasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, wabula okubeera ebbali, mu bifo ebitaalimu bantu. Eyo abantu gye baamusanganga, nga bava wonna.

See the chapter Copy




Makko 1:45

Follow us:

Advertisements


Advertisements