Online Bible

- Advertisements -




Luusi 4:5 - Luganda Bible 2003

5 Bowaazi n'agamba nti: “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Ruusi, nnamwandu Omumowaabu, ekibanja kiryoke kisigale mu mikono gy'ab'omu nnyumba y'omufu.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

5 Bowaazi n'agamba nti, “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Luusi, nnamwandu Omumowaabu, okuzaawo obusika bwa bba eyafa.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

5 Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

5 Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

5 Bowazi kwe kumugamba nti: “Lw'ogula ettaka n'oliggya ku Nawomi ne Ruusi Omumowabu, ne nnamwandu w'omufu oteekwa okumutwalirako, osigazeewo erinnya ly'omufu n'obusika bwe.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

5 Bowaazi n'agamba nti: “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Ruusi, nnamwandu Omumowaabu, ekibanja kiryoke kisigale mu mikono gy'ab'omu nnyumba y'omufu.”

See the chapter Copy




Luusi 4:5

Follow us:

Advertisements


Advertisements