Online Bible

- Advertisements -




Luusi 4:4 - Luganda Bible 2003

4 Era ndowoozezza nga nteekwa okukikutegeezaako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano. Naye bw'oba nga toyagala kukinunula, yogera mmanye, kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw'okukinunula, nze ne nkuddirira.” Oli n'agamba nti: “Nja kukinunula.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

4 Kale ndowoozeza nga nteekwa okukikutegeezako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Naye bw'oyagala okukinunula, kinunule, naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye; kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira.” N'ayogera nti, “Ndikinunula.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

4 Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.” Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

4 era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

4 Njagadde nkikugambe, okiwulire, nkuwe n'ekirowoozo oligule mu maaso ga bonna abatudde wano, n'ag'abakadde, abakulu mu bantu bange. Bw'oba obuvunaanyizibwa onoobutwala n'olinunula, kikole; bw'obanga toolinunule,mbuulira mmanye. Anti tewali wa luganda mulala alina kukola ekyo okuggyako ggwe, ate nze nkuddirira.” Ye n'ayanukula nti: “Nzija kulinunula.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

4 Era ndowoozezza nga nteekwa okukikutegeezaako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano. Naye bw'oba nga toyagala kukinunula, yogera mmanye, kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw'okukinunula, nze ne nkuddirira.” Oli n'agamba nti: “Nja kukinunula.”

See the chapter Copy




Luusi 4:4

Follow us:

Advertisements


Advertisements