Luusi 4:1 - Luganda Bible 20031 Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI1 Awo Bowaazi n'agenda awali omulyango gw'ekibuga awakuŋŋaanirwa n'atuula awo; laba muganda wa Erimereki Bowaazi gwe yayogerako nga yamusinga okuba ow'okumpi n'ayitawo; Bowaazi n'amugamba nti, “Owange, muganda wange! kyama otuule wano.” N'akyama n'atuula. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya1 Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya1 Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU1 Awo Bowazi n'ayambuka ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Aba akyali awo ow'oluganda omu eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'atuuka, n'amugamba nti: “Kyamako otuule wano;” n'akyama, n'atuula. See the chapterLuganda DC Bible 20031 Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula. See the chapter |