Luusi 3:15 - Luganda Bible 200315 Bowaazi n'amugamba nti: “Leeta ekyambalo kye weesuulidde, okyanjuluze.” Ruusi n'akyanjuluza. Bowaazi n'amuteerako kilo ng'amakumi abiri eza bbaale, n'azimutikka. Ruusi n'addayo mu kibuga. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI15 Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Ddira omunagiro gwo ogwalirire wansi.” Bowaazi naddira ebigero mukaaga (6) ebya sayiri n'abiyiwaako, n'abimutikka n'amusiibula addeyo mu kibuga. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya15 Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya15 N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka: n'agenda mu kibuga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU15 N'agamba era nti: “Ndeetera omunagiro gwe weebikkiridde, ogwanjuluze.” Bwe yagwanjuluza, Bowazi n'ayiwamu ebipimo mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka. N'addayo mu kibuga. See the chapterLuganda DC Bible 200315 Bowaazi n'amugamba nti: “Leeta ekyambalo kye weesuulidde, okyanjuluze.” Ruusi n'akyanjuluza. Bowaazi n'amuteerako kilo ng'amakumi abiri eza bbaale, n'azimutikka. Ruusi n'addayo mu kibuga. See the chapter |