Online Bible

- Advertisements -




Luusi 3:14 - Luganda Bible 2003

14 Ruusi ne yeebaka kumpi n'ebigere bya Bowaazi okutuusa obudde okukya. N'agolokoka nga tebunnalaba bulungi muntu kwetegereza munne, kubanga Bowaazi teyayagala bantu bamanye ng'omukazi ono azze mu gguuliro.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

14 Luusi ne yeebaka okumpi n'ebigere bye okukeesa obudde. N'asituka nga obudde tebunnalaba bulungi omuntu okwekkaanya munne kubanga Bowaazi yayogera nti, “Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

14 N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

14 N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

14 Ruusi ne yeebaka awo ku bigere bye okutuusa enkeera; naye yazuukuka bukyali ng'abantu tebannasobola kwawula ono ku oli. Bowazi n'agamba nti: “Wekkaanye! Tewabaawo amanya nti omukazi yazzeeko wano mu gguuliro.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

14 Ruusi ne yeebaka kumpi n'ebigere bya Bowaazi okutuusa obudde okukya. N'agolokoka nga tebunnalaba bulungi muntu kwetegereza munne, kubanga Bowaazi teyayagala bantu bamanye ng'omukazi ono azze mu gguuliro.

See the chapter Copy




Luusi 3:14

Follow us:

Advertisements


Advertisements