Luusi 2:2 - Luganda Bible 20032 Lwali lumu, Ruusi n'agamba Nawomi nti: “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nkuŋŋaanye ku birimba bya bbaale, abakunguzi bye balekamu, nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n'amugamba nti: “Genda mwana wange.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI2 Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” N'amugamba nti, “Genda, mwana wange.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya2 Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n’amuddamu nti, “Genda, muwala wange.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya2 Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa. N'amugamba nti Genda, mwana wange. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU2 Ruusi Omumowabu n'agamba nnyazaala we nti: “Nsaba kugenda mu nnimiro nnonderere ebirimba ebigenda bifikkira, mu buwufu bw'oyo gwe nnaasangako ekisa mu maaso ge.” Nawomi n'amwanukula nti: “Genda, muwala.” See the chapterLuganda DC Bible 20032 Lwali lumu, Ruusi n'agamba Nawomi nti: “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nkuŋŋaanye ku birimba bya bbaale, abakunguzi bye balekamu, nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n'amugamba nti: “Genda mwana wange.” See the chapter |