Luusi 2:13 - Luganda Bible 200313 Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI13 Luusi n'addamu nti, “Ondaze ekisa Mukama wange; era onsanyusizza kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya13 Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya13 Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU13 Ne Ruusi n'agamba nti: “Mukama wange, singa nno nnyongedde okusanga ekisa mu maaso go! Onkubagizza, n'oŋŋumya newandibadde nga sisaanira na kubeera omu ku bawala bo abakuweereza.” See the chapterLuganda DC Bible 200313 Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!” See the chapter |