Luusi 2:11 - Luganda Bible 200311 Bowaazi n'amuddamu nti: “Bambuulira dda byonna by'okoledde nnyazaala wo, kasookedde balo afa, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko, n'ensi mw'ozaalibwa, n'ojja okubeera mu bantu be wali tomanyiiko. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI11 Bowaazi n'addamu n'amugamba nti, “Bambuulirira ddala byonna bye waakola nnyazaala wo balo kasooka afa, era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya11 Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya11 Bowaazi n'addamu n'amugamba nti Bambuulirira ddala byonna bye waakakoze nnyazaala wo balo kasooka afa: era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU11 Bowazi n'amuddamu nti: “Bambuulira byonna bye wakolera nnyazaala wo okuva lwe wafiirwa balo, nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi yo mw'ozaalibwa n'ojja mu bantu be wali tomanyi mu kusooka. See the chapterLuganda DC Bible 200311 Bowaazi n'amuddamu nti: “Bambuulira dda byonna by'okoledde nnyazaala wo, kasookedde balo afa, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko, n'ensi mw'ozaalibwa, n'ojja okubeera mu bantu be wali tomanyiiko. See the chapter |