Luusi 1:6 - Luganda Bible 20036 Awo Nawomi ng'ali mu nsi y'e Mowaabu, n'awulira nga Mukama yawa abantu be omukisa, ne babaza emmere nnyingi. Kyeyava asituka ne bakaabaana be, ave mu nsi y'e Mowaabu. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI6 Awo Nawomi n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo nga ava mu nsi ya Mowaabu, kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yali ayambye abantu be, era nga abawadde ne mmere. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya6 Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya6 Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU6 Bwe yawulira nti Omukama adduukiridde abantu be, n'abawa emmere, kwe kusituka ave mu nsi y'e Mowabu adde ku butaka ne bakaabaana bombi. See the chapterLuganda DC Bible 20036 Awo Nawomi ng'ali mu nsi y'e Mowaabu, n'awulira nga Mukama yawa abantu be omukisa, ne babaza emmere nnyingi. Kyeyava asituka ne bakaabaana be, ave mu nsi y'e Mowaabu. See the chapter |