Online Bible

- Advertisements -




Luusi 1:1 - Luganda Bible 2003

1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo, abalamuzi nga be bakulembeze mu Yisirayeli, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja eyabeeranga mu Betilehemu eky'omu Buyudaaya, n'agenda ne mukazi we, ne batabani baabwe babiri, okubeera mu nsi y'e Mowaabu.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

1 Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu Isiraeri, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'asengukira mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

1 Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'agenda okutuula mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

1 Mu nnaku abalamuzi we baali bafugira, enjala yagwa mu nsi. Omusajja n'ava e Beteleemu ekya Yuda, ng'ali ne mukazi we n'abaana be babiri, n'agenda agire ng'abeera mu nsi y'e Mowabu.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo, abalamuzi nga be bakulembeze mu Yisirayeli, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja eyabeeranga mu Betilehemu eky'omu Buyudaaya, n'agenda ne mukazi we, ne batabani baabwe babiri, okubeera mu nsi y'e Mowaabu.

See the chapter Copy




Luusi 1:1

Follow us:

Advertisements


Advertisements