Lukka 3:8 - Luganda Bible 20038 Mukole nno ebikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Mulekere awo okweyinula nti tulina kitaffe Aburahamu, kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abazzukulu, ng'abaggya mu mayinja gano. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya8 Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU8 Kale nno mulage ebibala ebiva mu kubonerera kwammwe; temutandika kwegamba nti: ‘Tulina kitaffe Yiburayimu,’ kubanga, ka mbabuulire, mu mayinja gano gennyini Katonda ayinza okuggyiramu Yiburayimu abaana. See the chapterLuganda DC Bible 20038 Mukole nno ebikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Mulekere awo okweyinula nti tulina kitaffe Aburahamu, kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abazzukulu, ng'abaggya mu mayinja gano. See the chapter |