Lukka 3:14 - Luganda Bible 200314 Abaserikale nabo ne bamubuuza nti: “Ate ffe tukole ki?” N'abagamba nti: “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawaayirizanga misango gye batazzizza. Mukomenga ku kufuna misaala gyammwe gyokka.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI14 Era n'abasserikale nabo ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Naffe tukole ki?” N'abagamba nti, “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawayirizanga misango gye batazziza. Empeera yammwe ebamalenga.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya14 Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?” Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya14 Era basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki? n'abagamba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yammwe ebamalenga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU14 N'abaserikale nabo ne bamubuuza, ne bagamba nti: “Naffe tukole ki?” Ye n'abagamba nti: “Temulyazaamaanya muntu n'omu era temuwaayiriza; mubeere bamativu n'empeera yammwe.” See the chapterLuganda DC Bible 200314 Abaserikale nabo ne bamubuuza nti: “Ate ffe tukole ki?” N'abagamba nti: “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawaayirizanga misango gye batazzizza. Mukomenga ku kufuna misaala gyammwe gyokka.” See the chapter |