Lukka 2:7 - Luganda Bible 20037 N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI7 N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaafuna kifo mu kisulo ky'abagenyi. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya7 N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya7 N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaalaba bbanga mu kisulo ky'abagenyi. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU7 N'azaala omwana we omuggulanda wa bulenzi, n'amuzingazinga mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu; kubanga baali tebafunye kifo mu nnyumba y'abatambuze. See the chapterLuganda DC Bible 20037 N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo. See the chapter |