Koseya 2:15 - Luganda Bible 200315 Era nga tuli eyo, ndimuddiza ennimiro ze ez'emizabbibu. Ekiwonvu eky'Emitawaana ndikifuula oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu okumpulira nga bwe yakolanga mu nnaku ez'omu buvubuka bwe, mu kiseera kye yaviiramu e Misiri. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI15 Era nga tuli eyo, ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu, era ndifuula ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu nga mu nnaku ez'omubuto bwe, era nga mu nnaku ze yaviiramu e Misiri. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya15 Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu, ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli oluggi olw’essuubi. Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe, era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya15 Era ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu nga nnyima eyo, n'ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez'obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y'e Misiri. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU15 Nzija kumubonereza nga mmulanga ennaku za Baali, lwe yanyookezanga obubaani, ne yeewoomya n'empeta n'amagemo, olwo n'awondera baganzi be, nze ng'anneerabidde,” Omukama y'agamba. See the chapterLuganda DC Bible 200315 Era nga tuli eyo, ndimuddiza ennimiro ze ez'emizabbibu. Ekiwonvu eky'Emitawaana ndikifuula oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu okumpulira nga bwe yakolanga mu nnaku ez'omu buvubuka bwe, mu kiseera kye yaviiramu e Misiri. See the chapter |