Online Bible

- Advertisements -




Koseya 1:4 - Luganda Bible 2003

4 Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya Yezireeli, kubanga ebulayo ekiseera kitono, mbonereze ab'ennyumba ya Yeehu olw'abantu Yeehu be yattira e Yezireeli. Era ŋŋenda kukomya obwakabaka bwa Yisirayeli.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

4 Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mbonereze ab'ennyumba ya Yeeku, olw'omusaayi gw'abantu, Yeeku be yattira e Yezuleeri. Era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

4 Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

4 Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mpalane omusaayi gwa Yezuleeri ku nnyumba ya Yeeku, era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

4 Omukama n'amugamba nti: “Mutuume erinnya lye Yezureeli, kubanga wanaayita akabanga katono ne mbonereza ennyumba ya Yewu olw'okusanjaga okwali e Yezureeli, nkomye n'obwakabaka bwa Yisirayeli.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

4 Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya Yezireeli, kubanga ebulayo ekiseera kitono, mbonereze ab'ennyumba ya Yeehu olw'abantu Yeehu be yattira e Yezireeli. Era ŋŋenda kukomya obwakabaka bwa Yisirayeli.

See the chapter Copy




Koseya 1:4

Follow us:

Advertisements


Advertisements