Et 9:7 - Luganda Bible 20037 “Mujjukire era temwerabiranga bwe mwasunguwaliza Mukama Katonda wammwe mu ddungu. Okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mujeemera Mukama. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI7 “Mujjukire temwerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wammwe mu ddungu; kubanga okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino, mujeemera Mukama. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya7 Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya7 Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino, mujeemera Mukama. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU7 “Jjukira, teweerabiranga lwe wasunguwaza Omukama Katonda wo mu ddungu; okuva ku lunaku luli lwe wava mu Misiri n'okutuukira ddala mu kifo kino, ojeemera Omukama. See the chapterLuganda DC Bible 20037 “Mujjukire era temwerabiranga bwe mwasunguwaliza Mukama Katonda wammwe mu ddungu. Okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mujeemera Mukama. See the chapter |