Online Bible

- Advertisements -




Et 9:5 - Luganda Bible 2003

5 Muyingira okwefuga ensi yaabwe, si lwa kuba nti muli batuukirivu, oba nti muli balungi mu mitima gyammwe. Naye olw'ebibi byabwe, Mukama Katonda wammwe kyava agobamu ab'amawanga ago. Era ayagala anyweze kye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

5 Si lwa butuukirivu bwammwe so si lwa bugolokofu bwa mitima gyammwe, kyemuva muyingira okutwala ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago, Mukama Katonda wammwe kyava agagoba mu maaso gammwe, alyoke anyweze ekigambo kye yalayirira bajjajjammwe, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

5 Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

5 Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

5 Ogenda kutwala ensi zaabwe si lwa butuukirivu na bwesimbu bwa mutima gwo, wabula kubanga amawanga ago mabi. Omukama Katonda wo ajja kugagobawo mu maaso go, atuukirize ekigambo kye kye yalayirira bajjajjaabo: Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

5 Muyingira okwefuga ensi yaabwe, si lwa kuba nti muli batuukirivu, oba nti muli balungi mu mitima gyammwe. Naye olw'ebibi byabwe, Mukama Katonda wammwe kyava agobamu ab'amawanga ago. Era ayagala anyweze kye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.

See the chapter Copy




Et 9:5

Follow us:

Advertisements


Advertisements