Et 8:20 - Luganda Bible 200320 Bwe muligaana okuwulira Mukama Katonda wammwe, mulizikirira ng'ab'amawanga ago Mukama g'agenda okuzikiriza, mmwe nga mutuuka. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI20 Bwe muligaana okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, nammwe mulizikirira bwe mutyo ng'amawanga Mukama g'alizikiriza mu maaso gammwe.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya20 Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya20 Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU20 “Bwe muligaana okuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda wammwe, nammwe mugenda kuzikirira ng'amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso gammwe. See the chapterLuganda DC Bible 200320 Bwe muligaana okuwulira Mukama Katonda wammwe, mulizikirira ng'ab'amawanga ago Mukama g'agenda okuzikiriza, mmwe nga mutuuka. See the chapter |