Et 8:2 - Luganda Bible 20032 Era mujjukire nga Mukama Katonda wammwe bwe yabakulembera mu lugendo lwonna, emyaka gino amakumi ana mu ddungu, alyoke abatoowaze era abageze, amanye ekiri mu mitima gyammwe, oba nga munaakuumanga ebiragiro bye. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI2 Era munajjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wammwe lwe yabatambuza mu ddungu emyaka ana (40), alyoke abatoowaze, abagezese, ategeere ebyali mu mitima gyammwe, oba nga munaakumanga ebiragiro bye oba nedda. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya2 Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gy’azze ng’akukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya2 Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU2 Ojjukiranga olugendo lwonna Omukama Katonda wo lw'akuyisizzaamu mu ddungu emyaka gino amakumi ana, ng'agenderera okukutoowaza n'okukugeza, amanye ekyakuli ku mutima gwo, oba oli wa kukwatanga biragiro bye oba nedda. See the chapterLuganda DC Bible 20032 Era mujjukire nga Mukama Katonda wammwe bwe yabakulembera mu lugendo lwonna, emyaka gino amakumi ana mu ddungu, alyoke abatoowaze era abageze, amanye ekiri mu mitima gyammwe, oba nga munaakuumanga ebiragiro bye. See the chapter |