Online Bible

- Advertisements -




Et 8:19 - Luganda Bible 2003

19 Bwe mulyerabira Mukama Katonda wammwe ne mugoberera balubaale, ne mubaweereza era ne mubasinza, mbakakasa olwaleero nti temulirema kuzikirira.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

19 Awo olunaatuukanga, bwe muneerabiranga Mukama Katonda wammwe ne mugoberera bakatonda abalala ne mubaweereza, ne mubasinza, mbategeeza leero nga temulirema kuzikirira.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

19 “Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

19 Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

19 Naye bw'olyerabira Omukama Katonda wo, n'ogoberera balubaale abagwira, n'obasinza, n'obavunnamira, nkukakasiza ddala olwa leero nti mulizikiririra ddala.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

19 Bwe mulyerabira Mukama Katonda wammwe ne mugoberera balubaale, ne mubaweereza era ne mubasinza, mbakakasa olwaleero nti temulirema kuzikirira.

See the chapter Copy




Et 8:19

Follow us:

Advertisements


Advertisements