Et 7:5 - Luganda Bible 20035 Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro, See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI5 Naye munaabakolanga bwe muti: munaamenyamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya5 Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya5 Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU5 Wabula bino bye mubakolanga: emyaliiro gyabwe mugimenyangawo, amayinja ge baasimba mugaasaayasanga, empagi zaabwe eza Asera muzitemanga, n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale mubyokyanga. See the chapterLuganda DC Bible 20035 Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro, See the chapter |