Online Bible

- Advertisements -




Et 7:13 - Luganda Bible 2003

13 Anaabaagalanga mmwe, n'abawa omukisa, ne mweyongera okwala. Anaawanga abaana bammwe omukisa. Anaagimusanga ettaka lyammwe, ne mufuna omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti. Anaayazanga ente zammwe n'amagana gammwe ag'embuzi n'endiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

13 era anaakwagalanga, anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: anaawanga omukisa ennimiro zammwe ne mufuna eŋŋaano, envinnyo, n'amafuta ag'emizeyituuni. Anaayazanga amagana go ag'ente, ag'embuzi n'agendiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

13 Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

13 era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

13 Agenda kukwagala akuwe omukisa, akuwe okwala. Aliwa omukisa ezzadde ly'olubuto lwo n'ebibala by'ettaka lyo: eŋŋano, evviini ensu, n'omuzigo; aliwa omukisa obuyana bw'ente zo n'obuliga bw'omu kisibo kyo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

13 Anaabaagalanga mmwe, n'abawa omukisa, ne mweyongera okwala. Anaawanga abaana bammwe omukisa. Anaagimusanga ettaka lyammwe, ne mufuna omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti. Anaayazanga ente zammwe n'amagana gammwe ag'embuzi n'endiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe.

See the chapter Copy




Et 7:13

Follow us:

Advertisements


Advertisements