Online Bible

- Advertisements -




Et 6:24 - Luganda Bible 2003

24 Mukama Katonda waffe n'atulagira okutuukirizanga amateeka ago gonna, n'okumussangamu ekitiibwa, tulyoke tubeerenga bulungi bulijjo, era atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

24 Era Mukama n'atulagira okukwatanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

24 Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

24 Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

24 Omukama n'atulagira tukwatenga amateeka gano gonna, tutye Omukama Katonda waffe, tulyoke tubeere bulungi, era atukuume nga tuli balamu, nga bwe tuli kaakati.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

24 Mukama Katonda waffe n'atulagira okutuukirizanga amateeka ago gonna, n'okumussangamu ekitiibwa, tulyoke tubeerenga bulungi bulijjo, era atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.

See the chapter Copy




Et 6:24

Follow us:

Advertisements


Advertisements